Kkooti enkulu ewozesa abalyake n’abakenuzi e Kololo egobye okusaba kwa Minister omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja Agnes Nandutu, eyabadde ayagala eyimirize omusango ogumuvunaanibwa gwokwezibika amabaati agaali gagenda e Kalamoja.
Minister abadde yasaba nti omusango gusooke guyimirire okutuusa nga kkooti etaputa semateeka esazeewo ku butuufu bw’omusango guno.
Omulamuzi Jane Okuo Kajuga egobye okusaba kwa Minisita bwekizudde nti tewali nsonga yetaaga kutaputibwa ssemateeka mu musango gwe.
Omulamuzi Kajuga mu nnamula ye agambye nti abantu nga Nanduttu bebavuddeko okwetuuma kw’emisango emingi mu kkooti, nga baloopa emisango egitaliimu kanigguusa nekigendererwa kyokwonoonera kkooti ebiseera.
Omulamuzi ataddewo olwa nga 08 June,2023, oludda oluwaabi okuleeta obujulizi okulumiriza Minister ku musango gw’amabaati.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam