Amasaza ga Buganda gongedde okwetegekera empaka za masaza ezómupiira ogwébigere 2023 ezisuubirwa okutandika nga 24 omwezi ogujja ogwa June, olukiiko oluddukanya ttiimu yéssaza Mawokota lulonze Micheal Bukenya nga omutendesi omugya owa Mawokota.
Micheal Bukenya ku mulimu guno azze mu bigere bya Richard Malinga abadde amaze season 2 ng’atendeka Mawokota.
Malinga mu 2021 yabatuusa ku mutendera gwa semifinal ate omwaka oguwedde yabatusiza ku mutendera gwa quarterfinal.
Micheal Bukenya ku mulimu guno agenda kukola nábamyukabe okuli Mike Aziku ne Mutumba Adad nga omutendesi wa bakwasi ba goolo.
Bukenya okufuna omulimu gwókutendeka Mawokota yayise mu kakungunta akabaddemu abatendesi abalala okuli Simon Ddungu abangi gwebamanyinga Ddunga, Godfrey Wasswa omumyuka wómutendesi ku club ya Maroons eya Uganda Premier League,wabula nga kati yaweredwa omulimu ku ttiimu ya Busiro n’abalala.
Micheal Bukenya omwaka oguwedde yabadde mutendesi ku ttiimu yéssaza Busujju abatavudde mu kibinja, wabula era atendeseko amasaza amalala okuli Mawogola, Buwekula ne Buluuli.
Ttiimu manager omugya owéssaza Mawokota, munamateeka Dennis Bugaya, agambye nti okusunsulamu abazannyi kutandise ku kisaawe e Buwama era kugenda kumala ennaku 3 zokka, nasaba abazannyi abalina ebitone okujjumbira enteekateeka eno.
Mawokota mu mpaka zómwaka guno yateereddwa mu kibinja Muganzirwazza, omuli Busiro abaawangula empaka ezasembayo eza 2022, Gomba, Ssese, Mawogola ne Kabula.
Mawokota yakubiri mu kuwangula empaka za masaza emirundi emingi giri 3, nga yasooka mu 2005, 2007 ne 2013.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe