Ekibinja ky’abalamazi 24 abasookedde ddala okutuuka ku kiggwa ky’abajulizi abakatuliki e Namugongo kituuse, mu kulamaga kw’abajulizi omwaka guno 2023.
Abalamazi bano bavudde mu district ye Bushenyi mu Diocese ye Mbarara.
Batuukidde mu mizira egy’amaanyi e Namugongo nga kubaddeko n’omukadde Benaado Tibyangye agamba nti aweza egy’obukulu 101, era nga guno gwe mwaka gwe ogwa 52 ng’alamaga e Namugongo.
Benaado Tibyangye omusomesa okuva mu kisomesa kye Kateerangoma mu Bushenyi agambye nti bamaze ennaku 12 mu kkubo nga balamaga.
Olunaku lw’abajulizi lukuzibwa buli mwaka nga 03 June.#