Abatuuze ku kyalo Dewe Lutembe mu Kajjansi Town Council mu District ye Wakiso baguddemu ekikangabwa, omwana bw’akubye mwana munne ekikonde ekimutiddewo.
Omwana owemyaka 14 yakubye mwana munne ow’emyaka 12.
Kigambibwa nti omwana akubye ekikonde abadde yakamala ku kyalo omwezi gumu, era nti abadde atendekebwa muzannyo gwa Kalati.
Ssentebe w’ekyalo Dewe Mbona Denis ategezaezza Cbs nti ekiguddewo kibeeralikirizza, n’alabula abazadde okufaayo okulondoola abaana ebintu byebakola.
Omwana agambibwa okukuba munne ekikonde namutta mu kiseera kino akuumibwa ku police ye Kajjansi.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius