Government eyongedde ensimbi endala obuwumbi 817 mu mbalirira y’eggwanga ekyali mukwetegerezebwa parliament eya 2023 /2024 ekiretedde embalirira eno okulinnya okuva ku trillion 51 n’obuwumbi 919 ezaali zasooka okwanjulwa, okutuuka ku trillion 53 n’obuwumbi 700.
Ensimbi zino government ezanjudde leero mu parliament, wadde nga embalirira eyasooka lwebadde etegekeddwa okuyisibwa.
Nnaku ntono eziyise, government era yayongera ensimbi trillion 1 mu mbalirira eno, ekyagireetera okulinnya okuva ku trillion 50 n’obuwumbu 915 okutuuka ku trillion 51 n’obuwumbi 919.
Minister omubeezi ow’ebyensimbi Henry Musaasizi yayanjudde enyongereza eno mu parliament, sipiika n’agisindika eri akakiiko ka parliament akavunanyizibwa ku mbalirira,wakati mu kwemulugunya okuva eri ababaka booludda oluvuganya government.
Ku nsimbi ezongeddwa mu mbalirira y’eggwanga esuubirwa okuyisibwa olunaku olw’enkya ku Thursday, obuwumbi 37 bugenda ku mirimu gy’amaka g’obwa president mu nsawo etatunulwaamu, obuwumbi 70 nti bugenda kuweebwa musiga nsimbi Mathius Magoola azimbe eddwaliro ery’omulembe, ate ensimbi endala obuwumbi 339 zigenda mu ministry y’ebyokwerinda n’endala.
Ibrahim Ssemujju Nganda omubaka wa Kira Municipality agambye nti enkola y’okukuutiza embalirira y’eggwanga n’ebikolebwa ebirala, eyoleka ekifaananyi ekikyamu ennyo eri enzirukanya y’eggwanga lino.
Akulira oludda oluvuganya government mu parliament owek Mathias Mpuuga Nsamba asabye sipiika akkake ba minister bebyensimbi okuteeka mu buwandiike, nga beeyama nti vvulugu afanaana bwati taggya kuddamu kulabikako emyaka egiddako.
Wadde sipiika yasoose kuyimiriza olutuula lwa parliament okumala esaawa bbiri okuva ku saawa 4 okutuuka ku saawa 6, akakiiko k’embalirira kamalirize okwetegereza embalirira eno n’ensimbi ezongeddwamu, saawa mukaaga bweziweze, amyuuka sentebbe wakakiiko kano Wamakuyu Ignitius Mudiimi azeeyo nasaba esaawa endala bbiri nti akakiiko kamalirize omulimu.
Agambye nti ensimbi ezongeddwa mu mbalirira zikyusiza emiwendo gyonna nga betaaga obudde okugyetegereza.#