Abasaabaze abadda e Masaka n’okweyongerayo bajjumbidde entambula y’okumazzi bayita Nakiwogo – Ntebe okutuuka ku mwalo e Bukakkata.
Omu kubakola ku meeri e Nakiwogo Ivan Lubuye agamba nti abantu bazze mu bungi era okusaabaza abantu nga bakozesa MV Nodil Victroria ne MV Kalangala.
Akwanaganya entambula eno ey’emmeeri e Kalangala Sadala Musoke agambye nti entambula eno eyambyeko abantu bangi abagenda e Masaka ate nga n’ebisale bisoboka.
Okuva e Nakiwogo okutuuka e Bukakkatta batwalira shs 15000 buli muntu, so ng’abalina emmotoka basasula shs 50,000/=.
Abasaabaze CBS beyogeddre nabo bagamba nti okuyita e Nakiwogo kibayambyeko okukendeeza ku budde n’ensimbi zebakozesa okutuuka e Masaka nga bayise Mpigi.
MV Nodil Victoria yateereddwawo okwanguyizaako abantu abagenda n’okuva e Masaka, oluvannyuma lw’omugga Katonga okusalamu oluguudo lwa Kampala Masaka.
MV Nodil etandise okusaabaza abagenda e Masaka olwa leero ku Monday ku ssaawa musanvu ez’emisana.
Abava e Masaka yakubaggyayo enkeera ku ssaawa bbiri ezokumakya.
Abantu abasinga kati bayita Mpigi- Kanoni- Maddu – Ssembabule – Masaka, mweyongeramu kilometre ezikumukkiriza mu 80, bwogerageranya n’olugendo lw’e Lukaya.
Ekitongole kya UNRA kigamba nti omulimu gw’okuzaawo olutindo olwabomose ku Katonga, gusuubirwa okutwala ebbanga lya wiiki 3 okuggwa.
Bisakiddwa: Diana Kibuuka