Bazzukulu ba Nsamba abeddira Engabi bakubye bazzukulu ba Mugema abeddira Enkima mu mupiira ogw’ebigere ku goolo 3 – 1.
Ate mu mupiira ogw’abakazi ogw’okubaka Enkima ewangudde ku goolo 43 – 30 ez’Engabi.
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’aggulawo empaka z’omupiira gw’ebika 2023, oguyindidde mu kisaawe e Wankulukuku.#