Club ya Kampala Queens esitukidde mu liigi ya babinywera ey’omupiira ogw’ebigere ogw’abakazi eya FUFA Women Super League season ya 2022/23.
Kampala Queens ewangudde ekikopo ng’ekoze amaliri ne club ya Lady Doves ga goolo 1-1 mu kisaawe kya IUIU e Kabojja.Kampala Queens ekikopo kya liigi ekiwangulidde ku bubonero 47, nga kibakwasiddwa omumyuka wa president wa FUFA ow’okusatu Owek Florence Nakiwala Kiyingi.Club ya Kawempe Muslim ekutte ekifo kyakubiri n’obubonero 33.
Uganda Martyrs High School Lubaga ekutte ekifo kyakusatu n’obubonero 28.
Club ya She Corporates ne Olila High School zisaliddwako okuddayo mu kibinja kyawansi ekya FUFA Elite League.
Shakirah Nyinagahirwa omuzannyi wa Kawempe Muslim yalondeddwa nga omuzannyi asinze banne okucanga endiba, ate era yasinze okuteeba goolo 12.
Daisy Nakaziro omukwasi wa goolo ya Kampala Queens yasinze okukwata goolo, ate club ya Lady Doves yesinze okwolesa empisa mu mpaka zino.
Owek Florence Nakiwala Kiyingi bwabadde akwaasa abawanguzi ekikopo kino, akakasiza nti FUFA netegefu nnyo okwongera okuteeka ensimbi mu mupiira gwa bawala n’okuzimba liigi ey’omuggundu enavaamu abazannyi ba ttiimu y’eggwanga.
Emipiira emirala egigaddewo liigi eno, Makerere University ekubye UCU Lady Cardinals goolo 1-0, Uganda Martyrs High School Lubaga ekubye Olila High School goolo 3-0, Asubo Gafford Ladies ekubye Rines goolo 4-3 n’emizannyo emirala.
Kampala Queens yeegenda kukiikirira Uganda mu mpaka za CAF Women Champions League, wabula egenda kusooka kuyita mu kasengejja.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe