Akakiiko k’eggwanga ek’ebyokulonda ketaaga obuwumbi bwa shs 60 n’obukadde 880 okuteekateeka okulonda kwaba ssentebbe bebyalo aba LC I ne LC II.
Okusaba kuno akakiiko k’ebyokulonda kakutadde mu mbalirira yaako eyomwaka gweby’ensimbi 2023/2024.
Ekisanja kyaba ssentebbe bobukiiko bwebyaalo bano kigwaako mu mwezi ogwomusanvu omwaka guno 2023.
Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Paul Bukenya agambye nti akakiiko kebyokulonda kaali kaalina enteekateeka okutegeka okulonda kuno mu mwaka gwebyensimbi guno 2022/2023 ekisanja kigende okugwako nga waliwo abakulembeze abalonde.
Agambye nti enteekateeka zagwa butaka, olw’ensimbi ezaali zetaagisa okuteekateeka okulonda kuno obuwumbi 60 n’obukadde 880 tezaakaweebwa mu mbalirira y’omwaka guno 2022/2023.
Paul Bukenya agambye nti bajulidde kutegeka okulonda obukiiko bw’ebyalo mu mwaka gwebyensimbi 2023/2024 ensimbi bwezinaaba weziri.
Kinnajjukirwa nti parliament eye 10, yakyuusa etteeka erifuga okulonda Kwaba ssentebbe bebyalo, okuva mu kalulu akekyaama okudda ku by’okusimba mu mugongo.
Ba ssentebbe bebyalo abaliko mu kiseera kino, baalondebwa mu mwaka 2018, era ekisanja kyabwe ekyemyaka 5 kigwako mu June w’omwaka guno 2023.
Singa government teteeka nsimbi mu mbalirira y’akakiiko k’ebyokulonda nga bwekyali ku kulonda kwobukiiko bwabakyala ,eggwanga lyolekedde okuddayo okubeera neba ssentebe bebyalo abaliwo mu bumenyi bw’amateeka nga bwekyali emyaka 5 egiyise.
Omwaka oguwedde, akakiiko keby’okulonda kasazaamu okulonda kwobukiiko bwabakyala okw’eggwanga lyonna, olwa government okulemererwa okuwa akakiiiko kano obuwumbi 35 bwekaali ketaaga okuteekateeka okulonda.
Nookutuuka leero obukiiko bw’abakyala obuliwo ,buliwo mu bumenyi bw’amateeka.#