Omugoba wa loole namba UAW 789L emulemeredde bw’abadde alinnya olusozi “Ndikuttamadda e Kiyoola mu district ye Mukono ku luguudo Kyetume- Katosi.
Omugoba waayo agiddwayo ng’alumiziddwa byansusso, addusiddwa mu ddwaliro.
Eyerabiddeko nagage ng’akabenje kano kagwawo agambye nti emmotoka yandiba ng’eremereddwa okuyingiza ggiya, ate ng’ebadde etisse obukuta bw’enkoko nga buzitowa.
Bisakiddwa: Ssebwami Denis