Abasomesa 2,500 abawandiisibwa akakiiko ka Education service commission, okufuna emirimu mu masomero ga government basobeddwa, n’okutuusa kaakano tebanafuna masomero gyebagenda.
Ministry y’eby’enjigiriza ku nkomerero y’omwaka gw’ebyensoma 2021/2022, yawandiisa abasomesa abapya 4000 wabula nga ku bano, 2,500 tebanawebwa masomero gakusomesaamu.
Kinajjukirwa nti waliwo alipoota eraga nti abasomesa bangi mu masomero ga government babadde basasulwa omusaala ogwempewo nga tebakola ng’abamu baafa, abalala bawummula emirimu naye ng’amanya gaabwe tegajjibwa mu nkalala zisasulibwako.
Waliwo abasomesa bangi naddala aba science abasalawo okusuulawo emirimu gyabwe mu masomero g’obwananyini bayingire amasomero ga government, kubanga government yayongeza emisaala gy’abasomesa baayo aba science wabula n’okutuuka kati tebamanyi kiddako.
Dr Dennis Mugimba, ayogerera ministry y’eby’enjigiriza agamba nti wadde abasomesa 4,000 bebawandiisibwa, nti naye government terina nsimbi zimala bonna okubasasula, kwekusooka okuwaako abasomesa 1500 emirimu.
Dr Mugimba annyonyodde nti abasomesa 400 baasindikiddwa mu masomero ga government amapya aga SEED, abasomesa abalala 600 bazze mu bifo byabannabwe ababadde bafuna omusaala mu nkola eyaamaankyolo, ate abalala 500 bebazze mu bifo byabo abaafa, naabawummula omulimu gwobusomesa.
Dr Dennis Mugimba agamba nti gavumenti temanyi kyakukolera basomesa abalala mu kiseera kino, naddala abaagala okuwandiisibwa ku mirimu mu bwangu, kubanga ensimbi ez’okubasasula teziriiwo.
Dr Mugimba kyokka agambye nti waliwo akakiiko kaabantu 8 akatereddwawo okwongera okukubaganya ebirowoozo ku nsonga eno, nga kakulirwa omuteesiteesi omukulu mu ministry y’eby’enjigiriza, Ketty Lamaro, ne executive secretary wa ministry okusalawo ekyenkomerero ku nsonga eno.
Bisakiddwa: Ddungu Davis