Minisita omubeezi owa Tekinologiya Owek. Joyce Juliet Nabbosa Ssebuggwawo awabudde bannamawulire abakyala obutasirikira kusoomoozebwa kwebasanga ku mirimu ,naddala okukabasanyizibwa mu mukwano, kyagambye nti kikosa obuweereza n’emirimu gyabwe.
Owek Nnabbosa abadde atongoza ekibiina kya bannamawulire abakyala ekya WAN IFRA/WIN Uganda Chapter, omukolo gubadde ku Protea Hotel mu Kampala.
Bannamawulire abakyala abasoba mu 70 babanguddwa okumala emyezi 9 ku nsonga ezekuusa ku ngeri gyebasobola okutambuzaamu emirimu gyabwe n’okwewala okusoomoozebwa okwekuusa ku kukabasanyizibwa mu by’omukwano.
Minister w’ensonga z’e Karamoja Dr. Maria Goreth Kitutu akiikiridde Ssaabaminisita Robina Nabbanja y’akitongozza.
Bannamawulire bano bawaddeyo alipoota ng’eraga nti ebitundu ebisoba mu 40 ku kikumi batulugunyizibwa mu by’omukwano mu bifo gyebakolera.
Bisakiddwa: Diana Kibuuka