Omutawaana gugude mukabuga ke Butenga mu town council ye Butenga mu district ye Bukomansimbi,abaana babiri nga kuliko n’omuwere basirikidde mu muliro nebafuuka bisiriiza.
Abaana bano bafiiridde mu kazigo mwebabade basula,nga kitegerekese nti nnyaabwe abadde abasibiramu nagenda okukola ekiro, so nga kitabwe abadde mu maka ge amakulu ku kyalo ekiriranyeewo ekiyitibwa Sseera.
Ekivuddeko omuliro guno tekinaba kumanyika.#