Kafta Queen ow’emyaka 18 omuyizi ku ssomero lya Trinity College Nabweru akaligiddwa mu nkomyo yebakeyo emyaka 3, bwasingisiddwa omusango gw’okukuba munne Pretty Nicole 15 ng’amulanga okumwagalira omusajja ayitibwa Derrick Lwanga.
Omulamuzi wa kooti ye Kira Roselyn Nsenge yasingisizza Kafta Queen omusango.
Kafta Queen ne banne bakkakana ku Pretty Nicole nebamutulugunya omwali okumukuba,okumwambula,okumuyiira qmazzi nga bwebamusikasikanya enviiri, nga bino byonna baabikwata ku katambi nebakasasaanya ku mikutu emigatta bantu.
Omulamuzi bw’abadde awa ensala yr agambye nti Kafta amuwadde ekibonerezo ekisaamusaamu, olw’okuba nti abadde mukakkamu ate nga yejjusa nebyeyakola, n’olwokyo alina okukola ng’ekyokulabirako eri abalala abandibadde benyigira mu musango gwe gumu.
Wabula omulamuzi alagidde abakulu abavunaanyizibwa ku Nicole bamutwale gyebabudabudira abantu era atwalibwe ne ku ssomero asome.
Kafta Queen munnansi wa Tanzania yetwala ku police neyeyanjula, police bweyali emuyigga oluvannyuma lw’akatambi okutandika okusaasana ku mutimbagano.
Wabula Nicole yagaana okulonkoma abawala abaamutulugunya, ng’agamba nti byonna ebyamutuukako nga 8th January,2023 ku kyalo Nsasa mu Kira Municipality banne bwebaamukuba nti yali abivunaanyizibwako era nti gwamusinga.
Munnamateeka wa Nicole ayitibwa Gracious Nahabwe, agambye nti omusango guno gusaanye guwe eky’okuyiga eri abantu abalala bonna.
Bisakiddwa: Betty Zziwa