Kooti ye JInja eriko abawagizi ba NUP 12 bevunaanye okukuba olukugaana olumenya amateeka ku sunday eyise ,era ebasindise ku alimanda mu kkomera e Kirinnya okutuusa nga 6 february 2023.
Kuliko Kakaire Ramathan, Opio Frank, Nakiberu Joan nabalala, abasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Sumaya Kasule.
Ssaabawandiisi wa NUP Lewis Lubongoya , Nubian Lee nabalala babaddewo mu kooti, nga bannabwe basomebwa omusango.
Abawagizi ba NUP mu Busoga baali bakubye olukungaana olwali lugendereddwamu okusabira bannabwe abaafa.
Bisakiddwa: Kirabira Fred