Entiisa ebuutikidde abalombe mu Maggwa Cell Mpangala mu Kyengera Town Council, emmotoka ebadde esomba amayinja okuva mu kirombe bwekutuse ebinyuuzi nedda emabega, nebetenta omukyala omu kubabadde batisseeko amayinja.
Omukyala afudde ye Kyamumi Juliet omutuuze womukikajjo Kyengera town council.
Ssentebe wómuluka gwe Buddo Kato Cristopher Kayongo agambye nti emmotoka eno bwemaze okutikako amayinja, omukyala gwese abadde adduka kugirinnya agende bamusasule, wabula neremererwa nedda emabega nemulinnya, nesigala ng’eyiringita n’amayinja nesibira mu bidiba by’amazzi omwasimwa amayinja.
Police omulambo egugyeewo nga nókunonyereza bwekugenda mu maaso
Bisakiddwa: Lukenge Sharif