Ekizimbe ekya kalina ekibadde kizimbibwa mu Jinja city kyerindiggudde ku ttaka.
Ekizimbe kino kibaddeko emyaliriro ebiri, nga kibadde kizimbibwa ku Speke courts hotel.
Nnyini kalina eno egudde ategeerekeseeko erinnya limu erya Nabongo
Omu kubakulembeze ku Jinja City Council Twaha Wanyala avumiridde ababadde bazimba nti bandiba nga babadde bazimba mu nkola ya gadibe ngaĺye, nga n’ebizimbisibwa sibyamutindo.
Police ye Jinja tenazuula oba nga mulimu afiiriddemu.
Bisakiddwa: Kirabira Fred