Omwana ow’emyaka 7 afiiriddewo ate abalala 2 bakoseddwa byansusso.
Laddu eno egudde obukuba butonnyerera ku kyalo Kabigi mu town council ye Butenga mu district ye Bukomansimbi.
Laddu ebasanze mu kiyungu ewa kitabwe omuto nga bookya kasooli, omwana Kasenge Ronald 7 mutabani wa Kalanzi George e Kabigi n’emuttirawo, n’omwana omulala emusannyalazza saako nnyabwe omuto Nantege Susan naye emusannyalaza amagulu.
Bisakiddwa: Mubarak Ssebuufu Junior