Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo by’obusiraamu eby’omutendera gwa primary ku kitebe kya Kampala mukadde ekya Islamic Primary Leaving Examinations Board (IPLE) kyekifulumizza ebyava mu bigezi by’abayizi abaatula omwaka 2022.
Ku baana 4,219 abaatula ebigezo omwaka oguwedde, abayizi 2,696 bayitidde mu daala lisooka, 1,132 mu ly’okubiri, 174 ly’akusatu, 93 ly’akuna, ng’abagudde bali 61 bokka, ate 63 tebaatudde newankubadde baali bewandiisa okubituula.
Abayizi ebitundu 97% bebaayise, so nga mu 2021 abayizi ebitundu 99% bebaayita ebigezo.
Amasomero agaatula ebigezo bino eby’obusiraamu geyongerako okuva ku 147 okutuuka ku 231, gali mu district 48.
Abaana abalenzi ebitundu 57% abatuula ebigezo babiyise, ate abawala ebitundu 40% bebabiyise.
Bw’abadde esoma ebyavudde mu bigezo bino eby’omulundi ogw’okutaano ku muzikiti gwa Old Kampala, Shk Ismail Kazibwe, agambye nti ebigezo byabayizi 4 bikyakwatiddwa binonyerezebwako.
Essomo lya Tarbiyah erikwata ku mpisa ne nnono z’obusiramu lyeryasinze okukolebwa obulungi, nekudako okusoma Quran, essomo ly’okusoma olulirimi oluwalabu erimanyiddwa nga Lugha ne Fiqh erikwata ku byafaayo namateeka g’obusiraamu lyeryasinze okukolebwa obubi.
District ye Buikwe yesinze okukola obulungi neddirirwa Buvuma, Kyotera, Busia, Kassanda, Bugweri, nendala nga wabula district ye Bundibugyo, Koboko, Masindi, Yumbe nendala zezasinze okukola obubi.
Bw’abadde atongoza ebigezo bino, omunyuka ow’okubiri owa mufti wa Uganda, Shk Ali Waisswa, agambye nti omulimu ogukolebwa ekitongole kyebigezo mukulu ddala, ssonga abagukola bagukolera ku bwannakyewa wakati mu kusoomozebwa.
Shk Juma Bachit Cucu, avunanyizibwa ku kitongole ky’eby’enjigiriza ku kitebe ky’obusiramu kino, agambye nti batandise ku kawefube wokuwandiisa abayizi nga bayitirira ku mitimbagano, okukola curriculum y’obusiraamu eyaawamu okwewala abagambibwa nti baasomesa ebyekiyeekera, era alabudde amasomero goomusingi g’obusiraamu obutadamu kukola nga ssimawandiise ku kitebe ky’obusiramu ekya Kampala mukadde.
Bisakiddwa: Ddungu Davis