Abalimi ba Vanilla okwetoloola ebitundu bya Uganda ebyenjawulo batandise okukungula ekirime kya Vanilla, mu makungula agasookedde ddala omwaka guno.
Abalimi baali bakutandika okukungula vanilla mu makati g’omwezi oguwedde ogwa December, wabula Ministry y’ebyobulimi n’ebalagira okugira nga balinzeeko olw’embeera y’obudde eyalimu enkuba ennyingi, n’okwewala okukungula vanilla atakuze bulungi.
Minister avunanyizibwa ku by’obulimi , obulunzi n’obuvubi Maj Kyakulaga Fred Bwino agamba nti obubbi n’okutunda vanilla atanakula kyabulabe, era kikosa akatale ka vanilla wa Uganda.
Uganda ekwata ekifo kya 7 munsi yonna okutunda vanilla , ng’esinga kumutunda mu Canada, Japan, America nga asinga kulimibwa mu Buganda, Busoga ,Bundibugyo nebibitundu ebirala
Madagascar lye ggwanga erisinga okulima vanilla, endala ye Mexico , Indonesia ne China.
Vanilla asinga kussibwe mu mmere, eddagala n’ebirala
Vanilla wattunzi, era nga mu kiseera kino buli kkiro egulibwa wakati wa shs emitwalo 40,000/= ne 50,000=
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius