Ekitongole ekiddukanya ekibuga Kampala ekya KCCA kirangiridde nti kyetaaga stage za Bodaboda 445 zokka mu kibuga Kampala, ezisigadde zonna ziweereddwa omwezi guno gwokka zisengulwe.
KCCA eriko abantu betaddewo abagenda okulamba ebifo byonna ebigenda okubeeramu stage za bodaboda.
Ebifo ebitunuuliddwa ebitagenda kussibwamu Bodaboda mwemuli Taxi Park,okuliraana zi Bank,amalwaliro, amasomero nebirala .
Amyuka ssenkulu w’ekitongole kya KCCA Eng. David Luyimbaazi agambye nti ebifo ebirimu stage za bodaboda ebinaaba tebirambiddwa, bijjakuba byeraga mu lwatu nti tebikyakkirizibwa mu Kampala.
Welutuukidde olwaleero nga stage za Bodaboda ezisukka mu 1000 zeziri mu kibuga Kampala, nga zino zezigenda okukendeezebwa zisigale 445.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif