Entiisa ebuutikidde ekyalo Kasaba mu gombolola ye Nsango district ye Bugiri, omusajja avudde mu mbeera naatematema abolugandalwe basatu n’abatta, naye abatuuze nebamumiza omusu.
Mohamed Mukoli 50, kigambibwa nti aludde ng’alina obutakaanya n’aboluganda lwe, era nga babadde bayombayomba buli olukya.
Abattiddwa ye Susan Keribeti, Nabuhaya Jesca, Wopi Sam ne Mohamed Mukoli attiddwa abatuuze.
RDC e Bugiri Badru Sebyala ategezezza nti emirambo gyonna gitwaliddwa mu ddwaliro lye Bugiri, era nga ne police enoonyereza ku kivuddeko ettemu lino.
Bisakiddwa: Kirabira Fred