Abantu 9 omuli abaana abato, abavubuka n’abakulu mu myaka bafiiridde mu nsindikagano ebadde ku Freedom City, bwebabadde balwana okufuluma okulaba ebiriroliro eby’okusiibuula omwaka omukadde 2022 n’okwaniriza omuggya 2023.
Ekivvulu kino kyatuumiddwa party after party, era nga kyategekeddwa Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abitex.
Abalala bangi baakoseddwa era abadduukirize bakoze kinene okuddusa ababadde bataawa nebatwalibwa mu malwaliro agaliranyeewo.
Abamu ku bagenzi abaakamanyikako okusinziira ku amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiraano Luke Oweyisigire, kuliko Ibra Kizito owemyaka 11, Nazara Itmat ,Daniella Kibuuka emyaka 14, Cynthia, Viola, Shafic Muwonge emyaka 10 ne Nakatumba Margret owemyaka 29, Maria Namyalo emyaka 27
Ibra Kizito ne mwannyina Nanzama Itmat nga bazaalibwa Dr Isma Sseruli baziikiddwa leero ku kyalo Buyenge ekisangibwa mu district ye Butambala.
Oweyesigire agambye nti abafudde baabalinnye linnye, olw’omuwendo gw’abantu ogwayitiridde obungi, okwenyigiriza mumulyango ogwabadde omutono.
Embeera eno weyagwiriddewo omuyimbi Geoffrey Lutaaya ne Irene Namatovu bebaabadde ku Stage, era ng’abantu abaabadde bafunye obuzibu tebaasoose kumanyika.
Omubaka wa parliament owa Makindye Ssaabagabo David Sserukenya asabye police ekolaganenga n’abategesi b’ebivulu erambike abadigize obutaddamu kugenda mu bifo ebisanyukirwamu mu matumbi budde n’abaana abato.
Omubaka Sserukenya agambye nti abaana abasoba mu 40 bakyaanyiga biwundu olw’enjega eno.
Olw’embeera eno, ekivvulu ekirala ekibadde kirina okubaawo olwaleero kisaziddwamu.#