Ministry y’eby’enjigiriza esasudde abasomesa abalala abasoba mu 2,000 mu masomero g’obwannanyini ensimbi zaabwe ezalina okubaweebwa okwezza obuggya olwokukosebwa omuggalo gwa Covid 19.
Abasomesa bano ensimbi bazifunye mu kiro ekikeesezza olwaleero, bano abafunye beebomulundi ogwokubiri ku basomesa emitwalo 3 abalina okuganyulwa mu nteekateeka eno.
Wiiki ewedde abasomesa 2500 bebaafuna ensimbi zino nga buli musomesa aweebwa emitwalo 10 (shs100,000)
Ekitongole okuva mu America ekya Give directly, kyawa government ya kuno obuwumbi 30 okukwasizaako abasomesa, wabula abasomesa batono ddala ababadde bakafuna ssente zaabwe.
Dr Denis Mugimba, ayogerera ministry y’eby’enjigiriza agamba nti abamu ku basomesa boolekedde obutafuna ku ssente zino, nti kuba obumu ku bukwakkulizo obwateekebwawo abasomesa okuzifuna tebaabutuukiriza.
Agambye nti obumu ku bbwo amasomero mangi tegawa basomesa babwe ndagaano zibakakasa ku mirimu kwebabasasilira omusaala, ssonga eno nsonga nkulu ddala.
Ssente zino zaasooka kuyisibwa mu ministry y’ekikula ky’abantu wabula olukiiko lwa ba minister nerusalawo ziteekebwe mu ministry y’eby’enjigiriza, nti kuba yetwala era yeevunanyizibwa kubasomesa bonna mu ggwanga.
Omuggalo ogwaleetebwa covid19 gwatandika mu 2020 amasomero negaddamu mu 2022,era ng’ekiseera ekyo eky’emyaka ebiri abasomesa bangi mu masomero g’obwannanyini baali tebawebwa musaala.