Okusaba,okusinza n’okuyoyoota ebiggwa by’abajulizi bigenda mu maaso e Namugongo ga betegekera olunaku lw’enkya olwa nga 03 June,2022 okujjukira abajulizi abaafiirira eddiini.
Ebibinja by’abalamazi abaavudde e Masaka nabyo bituuse enkya ya leero, ekimu kituuse ssaawa kkumi nga bukya, ekirala kituuse ssaawa 6:40 ezokumakya batuukidde mu kusaba.
Ku kiggwa ky’abajulizi abakatuliki watimbiddwawo langi emyufu,enjeru ne kyanvu waaka.