Police yébidduka mu Kampala némiriraano efulumizza ennambika eneegobererwa abalamazi e Namugongo nga 3 June,2022 , okusobozesa abalamazi obutasumbuukana.
Enguudo zonna ezissiddwako essira zaakuggalwa ku ssaawa mwenda ogw’ekiro ekikeesa olwokutaano, era kisaliddwaawo nti tewagenda kuba mmotoka za taxi zikkiriIbwa kukolera ku nguudo ezirambikiddwa.
Omuduumizi wa poliisi yébidduka mu Kampala némiriraano Rogers Kawuma Nsereko abadde ku kitebe kya police ekikulu e Naggulu n’alangirira enteekateeka ezo.
Akikaatirizza nti tewagenda kuba kisa eri abanaamenya amateeka gano, naasaba abakozesa enguudo nébidduka okubeera abegendereza.
Oluguudo oluva e Kireka okudda e Kyaliwajjala lugenda kuba luyingiza buyingiza emmotoka okugenda e Namugongo.
Ate oluguudo oluva e Kyaliwajjala okudda ku Northern bypass lwerugenda okuba nga lufulumya emmotoka.
Oluguudo oluva e Kyaliwajjala okudda e Namugongo, terugenda kukkirizibwako mmotoka yonna.
Abagenyi abayite bagenda kukozesa obupande obumyufu.
Waliwo abaaweereddwa obupande obwa Kiragala ne Blue nga buno bwaweereddwa abo bokka abayite okuva mu mawanga agebweru wa Uganda, baakulambikibwa ekyetaagisa.
Mungeri yeemu waliwo n’abasiraamu abagenda okulamaga bakuyambibwako ssinga wabaawo akalippagano kébidduka, songa nábalamazi abagenda mu kifo kya Mamule prayer center nabo bakulambikibwa bwewanabaawo ekyetaagisizza.