Ekitongole kyeggwanga ekivunanyizibwa ku bisolo byomunsiko ki Uganda Wild Life Authority kikutte munnansi wa Yemen Ali Maamari Maged Mutahar Ali ng’akukusa amasanga g’enkula.
Maamari akwatiddwa ku kisaawe kyenyonyi Entebbe ng’afuluma Uganda.
Ayogerera ekitongole ki Uganda wild life Authority Bashir Hangi agambye nti musajja mukulu Ono embwa zabwe entendeke obulungi eza canine unit zezaazudde amasanga gano, geyabadde akukulidde mu migogo ng’emmere.
Bashir Hangi agambye nti yasangiddwa n’ebitundutundu by’amasanga 26, nga biweza kilogram 15.
Mu kiseer kino akuumibwa ku police ye Entebbe, wabula tanannyonyola gyeyabadde aggye masanga gano ag’enkula negyeyabadde agatwala.
Amasanga g’enkula gakolebwamu eddagala, eby’okwewunda by’abakyala,ebikopo eby’ebbeeyi n’ebintu ebirala bingi.