Parliament egaanyi okusaba kwa government okusonyiwa ebbibiro lya Bujagaali okuwa omusolo okumala emyaka emirala etaano.
Bakkiriziddwako omwaka gumu gwokka, era newasibwawo akakiiko akekiseera ketegereza engeri ebbibiro lino gyerikolamu emirimu gyalyo, n’ensimbi ezivaayo.
Parliament etegezeddwa akakiiko kaayo akalondoola ebyensimbi akabadde kekeneenya okusaba kuno, kagambye nti government, yakufiirwa omusolo gwa buwumbi 432 mu nteekateeka yokusonyiwa ebibiro lya Bujagaali okuwa omusolo okumala emyaka emirala 5.
Ebbibiro lino emyaka 10 egiyise libadde lyasonyiyibwa emisolo nekigendererwa ekyokukendeeza ebbeeyi y’amasanyalaze, wabula akakiiko kabuulidde parliament nti ebbeeyi y’amasanyalaze ebadde tekendeeranga, kyokka nga n’omusolo government tegufuna.
Wakati w’omwaka gwa 2018 ne 2021, eggwanga lyafiirwa omusolo gwa buwumbi 299 olwokusonyiwa kampuni eno emisolo.
Akakiiko ka parliament kano kakinogaanyiza nti wadde government yeesinga emigabo mu bbibiro lya bujagaali, terina yadde ennusu yamagoba gyeyali efunyeeyo.
Kino parliament kwesinziddeko negaana okuyisa emyaka 5 government gyeyali esabye, wabula eyisizaako omwaka gumu gwokka.
Sipiika Anita Among ataddewo akakiiko akagenda okwetegereza entambuza y’emirimu ku bbibiro lino okumala ebbanga lya myezi esatu.
Kakulemberwa omubaka wa munisipaali ye Sheema Dickson Kateshumbwa, katuulako ababaka okuli Mohammed Muwanga Kivumbi, Nathan Nandala Mafabi, Paul Omara owa Otuke nabalala.