Kampuni ye nnyonyi eya Uganda Airlines erangiridde nti esaze ku 𝝶𝝶endo zebadde egendako mu Dubai.
Uganda Airlines ebadde etwala abasabaze mu Dubai emirundi 4 buli wiiki nga kati esazeeko okudda ku 𝝶𝝶endo 3 buli wiiki.
Abakulu ku Uganda Airlines bagambye nti enteekateeka yókuddaabiriza ekisaawe kye Dubai yebaviiriddeko okukendeeza e𝝶𝝶endo zaayo.
Wasigaddewo olugendo lwa Sunday, Monday ne Wednesday, olwa Friday lweruyimiriziddwa.
So nga abava e Dubai okujja Entebbe, Uganda Airlines etaddewo Monday, Tuesday and Thursday.
Omwogezi wa Uganda Airlines Shakirah Lamar ategezezza CBS nti ekitongole ekitwala ebyonnyonyi mu Dubai kyabadde kibakkiriza okugwa mu bibuga okuli Sharjah ne Dubai World Central, kyokka Uganda Airlines egamba nti ebibuga ebyo biri wala ate era wabbeeyi okusinziira ku by’amaguzi abasuubuzi abatambulira ku nnyonyi zabwe byebabeera nabyo.
Okusinzira ku mukungu akulira etambuza ye mirimu ku kisaawe kyé Dubai, Paul Griffiths agamba nti enteekateeka yókulongoosa ekisaawe kye Dubai yakutuuka nga 22 June,2022 okwongera okuzza ekisaawe kyabwe ku mulembe.