Mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League omupiira oguzanyiddwa, club ya Wakiso Giants erumbye Tooro United omwayo n’egikubirayo goolo 1-0.
Omupiira guno guzanyiddwa mu kisaawe kye Buhinga e Fort Portal.
Goolo ya Wakiso Giants eteebeddwa Frank Ssebuufu.
Wakiso Giants esigadde mu kifo kya musanvu n’obubonero 36 ate nga Tooro United esembye n’obubonero 10.
Mu liigi ya babinywera ey’omupiira ogw’ebigere eya bakazi eya FUFA Women Super League, emipiira egizanyiddwa leero, Uganda Martyrs High School ekubye Lady Doves goolo 3-2.
UCU Lady Cardinals ekubye She Maroons goolo 1-0.
She Corporate ekubye Kawempe Muslim goolo 2-0. Kampala Queens ekubye Tooro Queens goolo 1-0.
Mu kiseera kino club ya She Corporate ekulembedde liigi n’obubonero 24, Uganda Martyrs High School yakubiri n’obubonero 19, Kampala Queens yakusatu n’obubonero 19 ate Rines SS esembye n’obubonero 6.
Mu mpaka za FUFA Big League emipiira egizanyiddwa, Kitara ekubye MYDA goolo 3-0.
Kyetume ekubye Nyamityobora goolo 6-0, Calvary ekubye Luweero United goolo 2-0.
Proline eremaganye ne Black Power goolo 2-2.
Kataka ekubye Ndejje University goolo 2-0.