Mu bitambiro bya missa byonna ebisomeddwa mu ekereziya okwetoloola essaza ekkulu erya Kampala,bajjukidde bweguweze omwaka omulamba bukyanga eyali Ssabasumba Dr Cyprian Kizito Lwanga ava munsi eno.
Ssaabasumba Lwanga yasangibwa ng’afiiridde mu buliri bwe, nga 03.04.2021.
Ekereziya emutenderezza nnyo olw’eddoboozi lyeyakozesa eri abatalina bwogerero, ate n’okubayigiriza okwegayirira nga bwebakola n’amaanyi gwabwe gonna.
Ekitambiro kya missa ekikulu kisomeddwa mu Lutikko e Lubaga, nga kikulembeddwamu Omubaka wa Paapa eyawummula Ssaabasumba Augustine Kasujja ne Ssabasumba Paul Ssemogerere, Vicar General Msgr Charles Kasibante, Chancellor Rev Fr Dr Pius Male Ssentumbwe, Cathedral Administrator Rev Fr. Achilles Mayanja Ssali n’abasaserodooti abalala.
Batenderezza omugenzi Ssaabasumba Lwanga olw’obuvumu, obuteesaasira, Okwagala nokwewaayo olw’abantu abalala,ate era yayagala nnyo abajulizi.
Obubaka bwa Ssabasumba Paul Ssemogerere eri abakristu busomeddwa chancellor w’e Ssaza ekkulu erye Kampala, Rev. Fr. Dr. Pius Male Ssentumbwe, ategezezza nti omugenzi ssabasumba Kizito Lwanga yasitulanga eddoboozirye ku lw’endiga ezamukwasibwa ezitaalina ddoboozi, era ateebaliranga mu byonna.
Aboluganda n’amaka Ssabasumba mwava, abakulembeddwamu Rose Lukwago, batenderezza omugenzi nti yali Taata owannamaddala, kubanga yeyali yasikira kitwabwe.
Ku lwekibiina kya Lubaga Cathedral National Foundation, Ssentebe wakyo Dr Saturninus Kasozi Mulindwa nga kyekimu ku bibiina byeyayitangamu okuzimba essaza, amutenderezza nnyo nti yali musajja mukozi nnyo era yaleka ebintu bingi byeyasaako amaanyi okusituka.
Ebimu ku bintu ebimujjukirwako kwekusaawo Museum yq Klezia, martyrs building Munyonyo, Mapeera House eya Centenary Bank, Ekiggwa kye Namugongo, wekembe Sacco,n’okutondawo ebigo ebirala bingi.
Mu kiseera kino essaza ekkulu erya Kampala lirina ebigo 67.
Emissa enkulu ey’okujjukira Ssaabasumba Cyprian Kizito Lwanga yetabyemu Ssabakristu we Ssaza Ivan Kalanzi, Omumyuka wa Ssabakristu wa Uganda yonna Anthony Mateega, ba ambasador, abakungu okuva mu gavumenti eyawakati ne Mengo n’abalala bangi.