Government etandise okuzimba ekkolero eddene Entebbe, erimaybako okukola ebiwandiiko bya government,omuli pass port, endaga muntu, driving permit n’ebirala ebikwata ku bantu bonna mu ggwanga.
Ekkolero lino lya kuwementa obuwumbi 41.
Lyakuzimbibwa kampuni y’amagye eya National Enterprise Co-operation.
Winston Katushabe, kaminsona mu ministry y’eby’entambula n’emirimu, ategezezza nti ekkolero lino singa linaaba liwedde, ligenda kuyambako okukendeeza ku nsimbi ezisasulwa abantu, okufuna ebiwandiiko ebimu okuli ne licence,n’okukendeeza ebicupuli by’ebiwandiiko ebisusse.
Katushabe asinzidde ku kkolero lya Uganda Security Printing Company erisangibwa ku Nasser road mu Kampala, mu lukungaana lwa bannamawulire, mwategereza nti ne driving permits ezisoba mu mitwalo 24, zezakakolebwa kampuni eno, okuva lweyawebwa ttenda omwaka oguwedde.
Katushabe agamba nti wakyaliwo okusoomoza okwabantu abakozesa ebiwandiiko ebicupuli,nebatandika okuvuga emmotoka nga tebasoose kugezesebwa, ekiviriddeko n’obubenje okweyongera ku makubo.
Andrew Kagoda, member w’olukiiko oluddukanya kampuni eya Uganda Security Printing Company ategezezza nti bali mukawefube ow’okusembeza empeereza mu bantu abali mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo.