Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwémmotoka zémpaka mu Uganda ekya FMU kitandika nga 01 April, 2022 okuwandiika abavuzi bémmotoka abagenda okuvuganya mu mpaka za Pearl of Africa Rally Championships ezómwaka guno.
Empaka zino zigenda kubeera mu bitundu bye Jinja okuva nga 6 okutuuka nga 8 omwezi ogwókutaano, era nga ziri ku calender ya Uganda eya National Rally Championshi ate ne calendar ya Africa eya Africa Rally Championship.
Abavuzi okuva munsi endala okuli Zambia, Kenya, Burundi ne Rwanda basuubirwa okwewandisa okuzeetabamu.
Empaka zino zigenda kubeera za mulundi gwakusatu ku calendar ya National Rally Championship era nga empaka za Mbarara Rally Championships ne Jinja Rally zezasoose okutegekebwa zonna neziwangulwa Ponsiano Lwakataka Mafu Mafu.
Munna Kenya, Manvir Baryan yeyawangula empaka z’omulundi ogwasembayo mu 2019.
Eza 2020 ne 2021 tezaaliwo olwómuggalo ogwaleetebwa ekirwadde ki Covid 19.