Bya Kato Denis
Emmundu eseka buteddiza ku ya nsalo ya Uganda ne DRCongo eye Bunagana, ngábayeekera ba UPDF nába FARDC bafuuza abagambibwa okuba abayeekera bákabinja ka M23.
Kigambibwa nti abamu ku baayekera bano bandiba nga bekukumye mu bantu ababundabunda, abaayingidde Uganda okuva mu DRC.
Enkya ya leero abantu abamu babadde batandise okuddayo mu Congo, wayise mbale emmundu netandika okutokota, ngámagye galwanagana nábayeekera.
Waliwo omuntu akubiddwa amasasi nga kigambibwa nti yoomu ku bayeekera ba M23 ababadde batandise okwetabika mu babundabunda, era ono kati ali mu mikono gya UPDF.
Amagye ga UPDF gakulembeddemu omulimu gwókusunsula abantu ababundabunda, okuzuula oba nga temwetabiseemu bayeekera.
Mu kiseera kino emirimu gisanyaladde ku nsalo ku ludda lwa Uganda, abantu balagiddwa okuggalawo business zabwe nábamu okuva mu mayumba gabwe bagire nga betegula ekibabu.
Olunaku lwajjo abantu abasoba mu mitwalo esatu bebagambibwa okuba nti besozze Uganda nga badduka mu DRC, oluvannyuma lwábayeekera ba M23 okuzinda ebyalo byabwe nebawamba abantu ba bulijjo naddala abavubuka abalina ku maanyi.
Ebitundu ebyasinze okukosebwa kuliko Runyonyi, Kyanzo, Bugusa ne Kyengerero,kirometer nga 4 okuva ku ensalo yé Bunagana mu North Kivu e Congo.