Ssabaduumizi wa police ya Uganda Martin Okoth Ocholla alagidde kampuni z’eby’okwerinda bbiri ez’obwannanyini ziggalwe bunnambiro,nti zaabulabe eri eby’okwerinda by’eggwanga.
Kampuni zino kuliko eya Damocos Security ne Detail protection services.
Kitegerekese nti emmundu ezaawebwa kampuni zino zibadde zikozesebwa mu bumenyi bw’amateeka, era nga n’abazikulira baava dda ku biragiro ebyabawebwa bwebaali basaba olukusa olutandikawo kampuni ez’engeri ezo.
Mu ngeri yeemu kampuni zino zirangibwa okulemererwa okusasula abakozi baazo, ekireetawo embeera enzibu eri abakwata mmundu okufuuka ab’obulabe eri bannansi.
Kampuni ezikola omulimu gwe gumu endala munaana, nazo ziragiddwa zigire nga ziyimiriziddwa olw’obutakola bulungi mirimu gyazo, era zino waliwo ebikyazinoonyerezebwako.
Mu kiwandiiko ekisomeddwa omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga ,ssabaduumizi wa police Martin Okoth Ocholla alagidde abaduumizi ba Poliisi mu ggwanga lyonna, bakungaanye emmundu okuva mu kampuni z’obwannanyini ez’ebyokwerinda eziyimiriziddwa neezo eziggaddwa, obutawa mwagaanya bayinza kuzikozesa mu bikolobero.
Ebyobnga bizze ku bbali poliisi mu Kampala n’emirirwaano erabudde ku bubbi bw’ettaka obupya obutandise , nga abalibba bakozesa endagamuntu enjingirire nebawuddiisa abaguzi.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala nemiriraano Luke Oweyisigire agambye nti abantu mwenda bamaze okukwatibwa mu Kampala era bakuumibwa ku poliisi ya CPS mu Kampala.