Poliisi enoonyereza ku buzzi bwemisango etandise okukuꞃaanya obujulizi ku bantu bonna abagambibwa nti bazze boogera ebya nsimattu kunfa y’abadde sipiika L’Okori Jacob Oulanyah.
Poliisi etegeezezza nti emaze okulawuna emikutu emigattabantu gyonna, okubadde kutambulira obubaka bwokufa kwa Oulanyah, era mu kadde kano eri mu kusengejja n’Okusunsula abagenda okuyitibwa babitebye, nga bwebanagaana bakukwatibwa ku kifuba.
President Gen Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa yasinziira ku mukolo gw’okulonda sipiika omuggya Anita Among n’omumyuka we Thomas Tayebwa, naayisa ebiragiro ku boogera amawulire geyayita agatalina makulu, nebasasaanya amawulire agoobulimba, nti Oulanyah yafa butwa ekintu ekitayogerwa basawo mu alipoota yabwe.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga, asinzidde Naggulu ku kitebe kya poliisi ekikulu n’ategeeza nti abanaayitibwa bakukola sitatimenti, olwo okuziika Oulanyah bwekunaaba kuwedde basimbibwe mu mbuga z’amateeka bannyonyole gyebamanyira nti omugenzi yafa butwa.
Mu ngeri eyenjawulo, police e Mukono etandise okunoonyereza ku ttemu eryakoleddwa ku bakuumi b’essomero lya St John SS Nakisunga Mukono.
Abakuumi bano babiri baalumbiddwa abazibu nebattibwa mu bukambwe.
Patrick Kanyole ne Hyuha Andrew babadde bakuumi ku ssomero lino, nga kitegerekese nti battiddwa mu maaso g’abayizi babiri , olwo abazigu bwebaamaze okubatta nebanyagulula ensimbi z’essomero lino.
Enanga agambye nti ettemu ekika kino lizza likolebwa mu bitundu bye Mukono naddala ku masomero, nga balumbagana abakuumi abatalina mmundu.