Police ya Uganda eyimirizza okuwa abantu ba bulijjo emmundu, n’ebitongole by’obwananyini ebya securiko okutuusa ng’omulimu gw’okufuna ebyogera ku mundu zonna eziri mu mikono gy’abantu gumaliriziddwa.
Enteekateeka y’okuwandiisa emmundu zonna ezikozesebwa abantu ba bulijjo, ne kampuni z’obwannanyini enkuumi ezimanyiddwa nga eza securiko kwatandika emyaka ebiri egiyise.
Emmundu 19,000 zezimanyiddwa mu mateeka, era nga zawebwako olukusa okukozesebwa abantu ba bulijjo n’ebitongole by’obwannanyini ebikuumi.
Charles Ssebambulidde akulira ekitongole kya Police ekivunanyizibwa ku kuwa abantu ba bulijjo n’amakampuni ga securiko emmundu agambye nti bayimirizza okuddamu okugaba emundu naddala ez’ekiika kya Basitoola okutuusa ng’omulimu ogwo guwedde.
Mu mbeera yemu Charles Ssebambulidde alabudde abo bonna abaawebwa emmundu naye nga tebanaddamu kusaba lukusa lubeera nazo,nti bazirina mu bukyamu.
Bino webijidde ng’ettemu lyemmundu lyeyongedde mu ggwanga, nga ne ku nkomerero y’omwaka oguwedde abazigu batta abasirikale ba police abasoba mu 8 nebabanyagako emmundu.
Mu bitundu bye Kalamoja abakwata mmundu a abagambibwa okuba aba Turkana basse abakugu ba ministry y’ebyobugagga ebyomutta nabajaasi abaabadde babakuuma.
Ekikwekweto ky’okuggya ku bakalamoja emmundu nakyo kikyagenda mu maaso.