Enkumi n’enkumi za Bodaboda mu Kampala n’ebitundu ebirala zoolekedde okutundibwa ku nnyondo, nga kalunsambulira ava ku banyinizo obutazinonayo ku bitebe bya poliisi weziterekebwa.
Kampala yekka alimu pipiki ezikunukkiriza mu 200 eziri ku bitebe bya poliisi ebyenjawulo, kyokka banyinizo batutte ebbanga erisukka mu myaka ebiri nga tebazinonawo.
Poliisi egamba nti egenda kukwatagana n’ekitongole ekiwooza ky’Omusolo okuzuula bannyinizo bwekigaana tegenda kulonzalonza yakuzitunda.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Oweyisigire, ategeezezza nti ezimu ku piki zino zandiba nga zaali zabbibwa ku bannyinizo abatuufu , kwekusaba ababbibwako piki zabwe bareete ebizoogerako.
Bodaboda ezisinga ku zino zaakwatibwa mu biseera by’omuggalo olw’okumenya amateeka ga Covid 19, n’okutambula mu biseera bya kafiyu.