Bya Davis Ddungu
Gavumenti ya Bujirimaani ng’eyita mu kitongolebkya Covax facility eyongedde okuduukirira Uganda egiwadde doozi obukadde 3,050,400 ez’eddagala ly’ekika kya Johnson and Johnson erigema Covid 19.
Omubaka wa Germany mu Uganda Matthias Schauer Botschafter, azikwasizza minisita w’ebyo’obulamu mu Uganda Dr.Jane Ruth Aceng.
Bugirimani yali yasooka kuwa Uganda ekika kya Astrazeneca, kati ezizaako Johnson and Johnson era ly’esuubizza okujongera doozi endala obukadde 2,400,000 lyakutuuka nga 9 December, 2021.
Minister Aceng agambye nti eddagala lino erya Johnson and Johnson ligenda kutwalibwa mu bifo ebizibu okutuukamu, ate nga tebirina bifo binyogoza ebitereka ebika ebirala ebyetaaga obunyogovu buli kadde.
Mu kiseera kino Uganda eweza doozi ezigema Covid 19 ezisoba mu bukadde 20 okuva mu bagabi b’obuyambi n’eziguliddwa gavumenti ya kuno, wabula abantu abaakagemwa bali obukadde 6,793,643. Ekigendererwa kyakugema abantu obukadde 22, olwo Uganda ebeere yadde yaddeko.
Alipoota ya ministry y’eby’obulamu ku bantu abaakebereddwa olunaku lwajjo egamba nti abantu abalala 32 bazuuliddwamu covid 19, nga bano beebamu ku bantu 5,864 abakebereddwa, kati omuwendo gw’abakazuulibwamu Covid 19 mu Uganda guli ku bantu emitwalo 127,616.
Abantu 115 bebakyali mu malwaliro, emitwalo 97,597 bebakajjanjabibwa nebawona. Waliwo omuntu afudde leero ekirwadde kino naweza omuwendo gw’abaakafa 3,254.