Gavumenti etongozza kawefube w’okulwanyisa ebikolwa eby’okukabasanya abaana abawala, ng’akulembeddwamu mukomukulembeze w’eggwanga era minisita w’ebyenjigiriza Janet Kataaha Museveni, omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga, Rtd Maj. Jessica Alupo, ne ssabaminisita wa Uganda, Robina Nabbanja.
Ebitongole ebirwanirira eddembe ly’abaana okuli ekya Unicef, UNFPA, ekya Uganda Population Council, Police, Inter Religious Council of Uganda, ne ministry ezenjawulo byonna byakwenyigira obutereevu mu lutalo luno, oluvanyuma lw’okukizuula nti abaana bangi mu ggwanga bafunye embuto nga tebanetuuka n’abandi okuvvoolebwa.
Gavumenti egamba nti ekigendererwa kyenteekateeka eno, kwekulaba ng’ebitongole ebikwatibwako ensonga byonna bikola obuvunanyizibwa bwabyo nga bwekisaanidde, okulaba nti omwana omuwala tagyolongebwa naddala mu bikolwa eby’okukakibwa omukwano, okutulugunyizibwa mu maka, okufumbizibwa nga tebaneetuuka nebirala.
Okunoonyereza okwakasembayo okukolebwa kulaga nti abawala ebitundu nga 64% b’olekedde obutamalaako mutendera gwa primary, ebitundu 60% bakusigala mu bwavu, ssonga kaakano abaana ebitundu nga 25% bebawanduka mu masomero olw’okufuna embuto.
Ssabaminisita wa Uganda, Robina Musaafiri Nabbanja, asinzidde mu kibangirizi ky’amefuga e Kololo, naawera nti gavumenti tegenda kuddamu kubalaatira mu nsonga zakukabasanya bawala ekibafiiriza ebiseera byabwe ebyomumaaso.
Dr Jane Ruth Aceng Ocero, minister w’eby’obulamu nga yaakiikiridde omukyala w’omukulembeze w’eggwanga Janet Kataaha Museveni mu kutongoza kuno,agambye nti ekigendererwa kukendeeza muze gw’abaana abawala abawanduka mu masomero okuva ku bitundu 25% olw’okufuna embuto okuda wakiri ku bitundu 15% ng’omwaka 2025 tegunayita.
Bannadiini mu mukago ogwa Inter Religious Council of Uganda, abakiikiriddwa Apostle Dr Joseph Sserwadda, beeweze okukwasizaako gavumenti mu lutalo luno, era nebasaba bakulembera enzikiriza ez’enjawulo okusoosowaza kawefube ono.
Dr Jotham Musinguzi, akulira ekitongole ekivunanyizibwa ku bungi bw’abantu mu ggwanga, ekya Uganda Population Council, agamba nti enteekateeka eno ey’okumala emyezi 12, y’akuyambako nnyo okumanya emisinde omuwendo gwa banna Uganda, kwegukulira n’okuyambako okuteekerateekera eggwanga obulungi.
Abakulira ebitongole by’ekibiina ky’amawanga amagatte okuli Otieno Mary owa UNFPA, ne Dr Muhammed El Munir Safieldin, owa UNICEF bagamba nti abaana emitwalo 354,736 bebafunyisibwa embuto mu mwaka 2020, nga ku bano emitwalo 29,219 baazifunira mukiseera eky’omuggalo wakati wa January n’ogwomwenda omwaka guno 2021.