Ebitongole n’amawanga amagabirizi g’obuyambi kukulwanyisa mukenenya bagala gavumenti eyongere ku mutemwa gw’ensimbi zessa mukulwanyisa mukenenya ereme kwesigama nnyo ku buyambi, Uganda bweba yakutuuka ku birubirirwa by’okumalawo mukenenya omwaka 2030 wegunaatuukira.
Akulira UNDP mu Uganda, Susan Ngongi Namondo, n’omubaka wa USA mu Uganda, Natalie Brown, benyamivu nti Uganda tekoze kimala kuvujjirira bwetaavu bwakugula ddagala lya sirimu nga ku bukadde bwa doola 470 obwetaagibwa, gavumenti ya kuno esobola kugulayo lya bukadde bwa doola 37 bwokka.
Bagamba nti embeera eno eremesa abalwadde okumira eddagala lyabwe mu budde obugerekeddwa n’obutafuna ddagala limala okunafuya akawuka mu mubiri, n’okukonzibya enteekateeka z’ebitongole ebinoonyereza ku ddagala eriweweza mukenenya.
Mu kiseera kino ekitongole kya Joint Clinical Research Centre kinoonyereza ku ddagala ly’empiso eriweweza mukenenya, nga singa linaaba liwedde okugezesebwa neritandika okukozesebwa, omulwadde wa mukenenya wakukubwanga empiso emu buli myezi esatu mu kifo ky’okumira empeke buli lunaku eziviirako abantu abamu okuva ku ddagala olw’okuzetamwa.
Ku mikolo egy’okukuza olunaku lw’okwefumiitiriza ku bulwadde bwa mukenenya egibadde ku kisaawe e Kololo, omukulembeze wa Uganda, Gen Yoweri Kaguta Museven Tibuhaburwa agambye nti bingi ebikoleddwa ebireetawo essuubi mu kulwanyisa mukenenya, neyennyamira olwabasajja abakuliridde mu myaka okusigala nga baganza abawala abato nebaleeta obulwadde okubeera obungi mu bavubuka.
Museveni agambye nti olutalo lwa mukenenya lusoboka okuwangulwa era nti werutuuse luwedde amamiima okuva ku bitundu 18% webwali mu myaka gya 1980, kati busse ku bitundu 5.4% wegwatuukidde omwaka gwa 2020, naasaba abantu okufaayo ku bulamu bwabwe.
Museveni era awanjagidde abantu abalina akawuka okujjumbira okumira eddagala lyabwe mu ngeri ennungamu, naakukkulumira abasawo abasalawo okusirika nga waliwo endwadde ezizze, bbo okwekolera ku sente eziwera mu balwadde nga babajanjaba endwadde ezo.
Minister w’eby’obulamu Dr. Jane Ruth Achenge Ocero, agamba nti obulwadde businze kweyongera nnyo mu mwaka gwa 2020 naddala mu bavubuka, nga kumpi abantu ebitundu nga 35% ku balina mukenenya, abasinga bamufunidde mu kiseera ky’omugggalo.
Dr. Nelson Musooba, akulira ekitongole kya Uganda Aids Commission, mwenyamivu nti newankubadde essira litereddwa nnyo ku Covid 19, ekirwadde kya siriimu kyongedde okukendeeramu mu ggwanga, oluvanyuma lw’okukwatagana n’abakulembeze b’ennono mu kulwanyia akawuka, kyokka nti ekyabaana abato abeyongera okufuna embuto mu muggalo kyongera okubeeralikiriza nti wadde bakyali ku kyambuto bandiba nga baafuna ne mukenenya.
Ssabalabirizi wekkanisa ya Uganda, The Most Rev Dr Samuel Steven Kazimba Mugalu Mboowa, kulw’enzikiriza zonna eziri mu ggwanga mu mukago ogwa Inter-Religious Council of Uganda, agambye nti eggwanga lyetaaga okwongera okukwasizaako abantu abalina akawuka n’okukendeeza okubasosola.