Omuntu omu affiiridde mu nabbambula w’omuliro atanategerekeka kwavudde, asaanyizaawo n’ebintu by’abatuuze ku kyalo Kireka C mu division ye Namugongo Kira municipality .
Afudde mwana wa mwaka nga gumu, nga kigambibwa nti Nnyina abadde amulese yebase mu nju, omuliro gyegumusanze.
Nnyina agezezaako okudduka amutaase wabula omuliro negumusiinga amaanyi, era naye addusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka.
Bisakiddwa: Tonny Evans Ngabo











