Olwaleero 29 October,2025 lunaku lwakuwummula okwetoloola Tanzania n’ekizinga kye Zanzibar, okusobozesa bannansi obukadde 37 n’emitwalo 70, okwetaba mu kulonda kwa bonna 2025.
Abokukizinga Zanzibar okulonda kwatandise eggulo nga 28 October,2025.
Abantu 17 bebesimbyewo okuvuganya ku bwa president bwa Tanzania, bannansi kwebalina okulonda agenda okuweebwa ekisanja kya myaka 5, saako ababaka ba Parliament ne ba kkansala.
President Samia Suluhu Hassan ow’ekibiina ekiri mu buyinza ki Chama Cha Mapinduuzi (CCM), gwe mulundi gwe ogusoose okubeera ku kakonge ng’avuganya nga president. Mu kalulu akaayita kwaliko John Pombe Magufuri eyafa mu 2021, olwo Suluhu eyali omumyuka we naalayizibwa okutwala Tanzania mu maaso.
Wabaddewo okuwanvuya amaloboozi n’okwekaajanga mu bibuga ebimu, ng’abamu ku bannansi balumiriza nti Bannabyabufuzi ab’omuzinzi baalemesebwa okwesimbawo ku bwa president.
Government ya President Samia Suluhu Hassan ebaanukudde nakulaangirira kafyu mu bibuga ebyo, okwewala ebiyiinza okuddirira.#











