Akalulu akasoose okukubwa ba Kaliddinaali okulonda paapa owa 267, tekavuddemu bibala.
Omukka omuddugavu ogukwatiridde mu bwengula bwa Sistine Channel gwegufulumye mu lukiiko ewatudde Olusirika lwa ba kaliddinaali 133, abali ku mulimu gw’okulonda Paapa anadda mu bigere bya Paapa Francis.
Bakaliddinaali basuubirwa okuddamu okukuba akalulu ku lunaku olw’okubiri, era ng’ekirindiriddwa gwe mukka omweru okufuluma ng’akabonero ak’essuubi Paapa bw’anaaba alondeddwa.
Abakristu okwetoloola ensi yonna bali mu ssaala okusabira bakaliddinaali okumaliriza obuvunaanyizibwa buno obulungi, era nga bwebaasabye nga bayingira mu Sistine Chapel gyebakuηaanidde okulonda Paapa addako.