Kooti enkulu e Masaka esindiise omusawo w’ekkinansi Mases Makumbi Kiseegu n’omukozi we Dennis Kabuye ku kibonerezo kyakusibwa obulamu bwabwe bwonna, oluvanyuma lw’okusingisibwa omusango gw’okusaddaka omwana Percy Mirembe.eyali ow’omwaka gumu n’ekitundu.
Ettemu lino lyaliwo nga 25 November,2017, ababiri bano bwebaasaanga Persey Mirembe ng’azannya ne muto munne Joram Kayiira, kwekumuliimbalimba nebamuwa swiiti, nebabuzaawo Mirembe.
Bino byali ku kyalo Kayogi mu Nyendo Mukungwe mu Masaka.
Omulamuzi Victoria Nakintu Katamba olumaze okuwuliriza obujulizi bwonna, n’asaba taata w’omugenzi nga ye Moses Karangwa abeeko kyayogera, asabye omulamuzi nti abasibe babalagirire gyebatwala ebitundu by’omwana wabwe ebirala basobole okubiziika.
Era asabye omulamuzi abatta omwana we mu ngeri y’okusaddaaka nti bawanikibwe ku kalabba.
Wabula munnamateeka w’abavunaanwa asabye omulamuzi abaddiremu nti kubanga Moses Makumbi Kiseegu akaddiye ali mu myaka 77 ate atambulira ku miggo, so ng’alina n’abaana 71 balina okulabirira.
Ate ye Denis Kabuye alina emyaka 43 nti naye ebirwadde bimubala embiriizi.
Wabula Omulamuzi Victoria Nakintu Katamba alagidde basibwe mu nkomyo obulamu bwabwe bwonna, wabula n’ategeeza nti basobola okujulira mu nnaku 14.
Moses Makumbi Kiseegu era yeyali omusawo wa Kato Kajubi eyasingisibwa ogw’okusaddaaka omwana Joseph Kasirye eyali ow’emyaka 12.
Bisakiddwa: Jimmy Ssekabiito