Bya Davis Ddungu
Abasuubuzi b’ennuuni bannauganda bawadde nsalessale wa wiiki bbiri bekalakaase, singa government terambika ntambuza ya mirimu gyabwe.
Banokoddeyo ekya government okutiitiibya abagwira neremesa bannauganda okufuna licence z’okusaabaza emmaali yabwe.
Abasuubuzi bano beegattira mu kibiina ki Uganda fish maw traders Association.
Jackson Yiga Musisi amyuka Sentebe w’ekibiina kyabwe ne Richard Matovu ssaabawandiisi w’ekibiina bagamba, nti waliwo abakungu mu government abakikola mu bugenderevu okulemesa bannansi obusuubuzi bw’ennuuni.
Bagamba nti ttenda zisinga kuwebwa bagwira, kwotadde n’okusaawo obukwakkulizo obususse obugenderera okulemesa bannauganda okusuubula ennuuni,okuzitambuza.
Wabula gyebuvuddeko Minister omubeezi avunanyizibwa ku buvubi Hellen Adoa yeganye ebigambibwa nti ministry ye erina abagwira beyawadde licence ezibakkiriza okutunda n’okusuubula ennuuni wamu n’okuvuba,eza bannauganda nezikasukibwa ettale.
Yannyonyodde nti mu kiseera kino bakyekennenya kampuni zonna okuli ez’abagwira n’ezabannauganda ezaasaba ‘licence’ omusuubula ennuuni.
Hellen Adoa era ategeezezza nti ennuuni kyekimu ku bintu ebisinze okuvaako okutyoboolebwa kw’amateeka g’obuvubi mu ggwanga, n’okumalamu ebyenyanja mu nnyanja, nolwekyo zirina obusuubuzi bwazo bulina okukwatibwa obulungi okutaasa ebyennyanja obutaggwa mu nnyanja,okuziyiza abazikukusa, n’okukuuma obuyonjo zivuganye bulungi ku katale k’ensi yonna.
Kinnajjukirwa nti gyebuvuddeko ,waaliwo abayindi abavaayo nekirowoozo ekyali kisaba nti bannansi bagaanibwe okuddamu okulya empuuta ,nti zisigale nga zakutundibwa bweru waggwanga okwongera okufunamu ensimbi.
Ku katale k’ensi yonna ennuuni yattunzi, eri wakati wa doola ya America $450 ne $1000 buli kkiro.(shs1.5 m – 3.6m).
Wabula wano mu ggwanga ennuuni egulwa wakati wa shs emitwalo 160,0000 okutuuka ku 350,000/=.
Ennuuni zino ziggibwa mu mpuuta, era nga zikolebwamu ebintu eby’omuwendo bingi.
Zivaamu wuzzi ezikozesebwa okutunga abantu ababeera balongooseddwa mu malwaliro,muvaamu eddagala, waliwo byeziyamba mu kukola ennyonyi, zitabikibwa mu mmere n’ebintu ebirala bingi.