Sports
Charles Kagimu awangulidde Uganda omudaali gwa zzaabu omulala – mu mpaka za All Africa Games 2023
Namubiru Juliet
March 15, 2024
9:02 PM
Munnauganda omuvuzi w’eggaali z’empaka Charles Kagimu awangulidde Uganda omudaali gwa zaabu mu mpaka za All African Games eziyindira mu e Ghana. Charles Kagimu omudaali guno gwawangudde guwezeza emidaali gya zaabu 2 Uganda gye yakawangula mu mpaka zino. Abasoose okuwangula omudaali gwa zaabu ye Hussina Kobugabe ne Gladys Mbabazi mu mpaka za Women’s Double eza […]
Munnauganda omuvuzi w’eggaali z’empaka Charles Kagimu awangulidde Uganda omudaali gwa zaabu mu mpaka za All African Games eziyindira mu e Ghana.
Charles Kagimu omudaali guno gwawangudde guwezeza emidaali gya zaabu 2 Uganda gye yakawangula mu mpaka zino.
Abasoose okuwangula omudaali gwa zaabu ye Hussina Kobugabe ne Gladys Mbabazi mu mpaka za Women’s Double eza Badminton.
Uganda kati omugatte yakawangula emidaali 8 okuli egya zaabu 2, egya feeza 3 n’egyekikomo 3.#
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment