Akakiiko ka parliament akavunanyizibwa ku by'obuzimbi kayise bunnambiro Ssabawolereza wa government, eyali minister w'eby'enguudo n'emirimu Rtd Gen. Edward Katumba Wamala neeyali minister avunayizibwa ku nsonga z'omunda mu ggwanga Gen. Kahinda Otafiire, bongere okuttanya kunkola ya kampuni ekola technology wa number plates endigital eya ITMS ku ngeri gye baagerekamu emiwendo gy'okufuna number plates n'ebirara. 

Akakiiko kasoose.kusisinkana   abakungu okuva mu wofiisi y'ensonga zobwa president, ministry ye byensimbi nabakulu okuva mu kampani ya ITMS okwanukula kwebyo bye baasinzirako okugereka omuwendo gwa  shs 714,300/= ogusasulibwa okufuna number plates zino endigito empya, n'okkulaga obukakafu oba number plates zino zirondoolebwa  n'ebirala. 

Ababaka era baagala  n'okumanya ensimbi government zeyaakatemu nezesuubira okufunamu, era wano omuteesiteesi omukulu mu w'ofiisi yobwa President Hajji Yunus Kakande ategezeza nga ekigendelerwa kya government bwekyali eky'okunywezza ebyokwerinda  ssosi kutunuulira byanfuna. 


Wabula ababaka batuuse n'okwagala
 kkampuni eyaweebwa ttenda okukola digital number  plates eya joint Stock Company Global security, eggyibweko obuyinza okusolooza sente, omulimu guweebwe  ekitongole ky'omusolo ekya Uganda Revenue Authority   okutuusa nga kyeterezezza. 

Kino kiddiridde abakungu okuva mu  minisitule y'ebyensimbi n'ensonga za President okubadde Moses Bekabye ne Nathan Gesa okutankana kko n'okulemererwa okunyonyola ku nsimbi zino ezisoloozebwa, era gye bigweredde nga bakwasiddwa ab'ebyokwerinda.

Ssentebbe wa kakiiko kano Mwine Mpaka waasinzidde okuyita Ssabawolerezza wa Government okwongera okubalungamya ku nsonga eno, saako neyali minister we byenguudo ne mirimu Gen Katumba Wamala, wamu neeyali minister avunayizibwa ku nsonga z'omunda mu ggwanga Gen Kahinda Otafire abaali mu wofiisi ebiseera ebyo. 

Ensonga ya digital number plate ezze yemulugunyizibwako abakulu abenjawulo okuviira ddala ku ngeri kampuni eyakwasibwa omulimu guno engeri gyeyasunsulwamu, saako engeri ey'akasoobo gyekolamu emirimu gyayo, nga number plates zirwayo nnyo bannyini mmotoka okuzifuna.

Bisakiddwa: Nabagereka Edithie