Abantu ba Kabaka ababeera e Canada, bategese ekyeggulo ekyenjawwulo, okujagulizaako ekitongole ki Kabaka Foundation okuweza emyaaka 30 nga kituusa Obuweereza obwâObujjanjabi eri abantu be.
Ekyeggulo kino ekyatuumiddwa Buganda Royal dinner and prayer day ekibadde mu kibuga Toronto ku Don Valley hotel and suits.
Kigendereddwaamu okusabira Obwakabaka , n'okutegeeza abantu bĂmutanda enteekateeka endala nyingi eziyambako mu kukulaakulanya Obuganda.
Minister wa gavumenti ezebitundu era nga yavunaanyizibwa ku bantu ba Ssemunywa ebali ebweru wa Uganda Owek Joseph Kawuki, yebazizza byansusso abantu ba Kabaka abeetabye mu ntekateeka zonna , omuli Oluwalo , okunyweeza Obuwangwa nĂnnono nga bayita mu kutumbula Olulimi Oluganda , nga bayita mu kitongole ki Luganda Academy Canada ne Bulungibwansi Canada.
Omwaami wa Kabaka amukulembererako essaza Canada Owek Estella Muyinda, agambye nti tebagenda kukoowa kukwasizaako Ssemunywa mu kusitula omutindo gwĂbyobulamu nĂmbeera zĂbantu ezebyenfuna, neyeebaza emirimu egikoleddwa Kabaka Foundation mu kujjanjaba abantu bĂmuteregga.
Mungeri eyenjawulo Omubaka Estella Muyinda, yeebazizza bannamikago abakwatiddeko Obwakabaka bwa Buganda okusembeza obuweereza obwenkizo eri abantu ba Ssemunywa.
Ekyeggulo kino kiwagiddwa bannamikago bĂbwakabaka mu Canada, omubadde Kabaka Foundation Canada, Canadian blood services, La Pearl decors ,fly sport cargo services, ChakulaTamu nĂbalala bangi.
Bisakiddwa: Kato Denis
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment