Oluvannyuma lwa Uganda Cranes okumegga Libya goolo 1-0 mu kisaawe kya Hoima City Stadium mu mpaka ez'okusunsulamu amawanga aganaakiika mu mpaka za Africa Cup of Nations Pamoja 2027, kati Uganda yeeri ku ntikko y'ekibinja H.
Uganda Cranes ekulembedde ekibinja kino n'obubonero 04 okuva mu mipiira 2, nga omupiira gwa Uganda Cranes ogwasooka mu mpaka zino yagwa maliri ne Tunisia goolo 1-1.
Botswana yakubiri n’obubonero 2, nga Botswana yasooka kugwa maliri ne Libya goolo 2-2, ate era yasembyeyo kugwa maliri ne Tunisia era goolo 2-2.
Tunisia yakubiri n'obubonero 02, nga yasooka kugwa maliri ne Uganda Cranes goolo 1-1 ate era yasembyeyo kugwa maliri ne Botswana goolo 2-2.
Libya yesembye mu kibinja kino naakabonero kamu nga yakafunye mu kugwa maliri ne Botswana goolo 2-2.
Uganda Cranes ejja kukomawo mu kisaawe okuzannya mu mpaka za Africa Cup of Nations Pamoja Qualifiers nga 11 November, kuzannya ne Botswana ne nga 24 November ezannye ne Tunisia, ng'emipiira gyombi Uganda Cranes yekyaza awaka.
Wabula oluvanyuma lwa Uganda Cranes okuwangula Libya goolo 1-0 e Hoima, akulira eggye lye ggwanga Gen Muhoozi Kainerugaba , ttiimu agiwadde akasiimo k'ensimbi za Uganda obukadde 30.
Ensimbi zino zireeteddwa ssentebe wa office ya PLU David Kabanda, era azikwasiza captain wa Uganda Cranes Dennis Masinde Onyango.
Uganda Cranes egenda kuzaako okuzannyamu emipiira 2 egy'omukwano ne DRC nga 02 ne nga 05 October e South Africa.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment